Akuuma Ettaka Lya Kibuule Asibiddwa

0
859

Gaston Twinamasitko aduumira poliisi y’e kigaya mu disitulikiti ey’e Buikwe asibiddwa, olw’okukola obubi omulimu ogw’obuserikale. Nnyinintebe w’akakiiko akanoonyereza ku byettaka omulamuzi Catherine Bamugemereire yaasibye afande ono, oluvanyuma lw’okumwokya kajojijoji w’ebibuuzo nga byaddamu tebikwatagana. Ensonga nno ezizaalidde Gaston ebitukula z’ensonga z’ettaka lya Namasole ery’e Buikwe mu kyaggwe, Minisita Kibuule gyalumirizibwa okukozesa poliisi okugobaganya, nookutulugunya abantu ba Kabaka abaliriko.