Abakozi Ba NFA Bacoppa Lwa Musaala

0
460

Abakozi abakolera webagimusiza emiti mu kifo kya gavumenti ekya Namanve National Tree seed center ekirabirirwa ekitongole ky’ebibira ki National Forestry Authority bawanjagidde minisita omubeezi ow’obutonde bw’ensi Mary Kitutu nga bwebaludde nga tebasasulwa musaala gwabwe gwebaakolera okuviira ddala mu mwezi gwe 10 mu mwaka oguwedde. Bano basindidde minisita ennaku gyebayitamu nga bakola emirimu omuli okusimba emiti, okugifukirira, okutikkira abaguzi ku mmotoka n’emirala mingi ng’ate basiiba njala awatali kubawa yadde ekikopo ky’obuugi.