Abatuuze Bakeera ‘Kuyigga’ Mazzi e Nakaseke

0
435

Abatuuze abasoba mu 5000 mu ggombolola y’e Wakyato naddala mu mu muluka gw’e Mijumwa gebakaaba gebakomba olw’ebbula ly’amazzi mu kitundu kyabwe. Nandibadde gavumenti yavaayo n’ebasimira ekiddiba mu 2016 okulaba ng’emalawo ekizibu kino. Bano bagamba nti ewaasimwa ddaamu eno etabagasa wewaaberanga ekidiba kyabwe ekyali kibamanyidde ennaku era webaggyanga amazzi gebaakozesanga okunywesako n’ebisolo byabwe naddala ente naye mukadde kano bavuganya nente mu bidiba.