Omulabirizi Ayatulidde Museveni Awummule

0
1133

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Rwenzori kitaffe mu katonda Reuben Kisembo Amooti ayatulidde pulezidenti yoweri kaguta museveni nti afube nnyo era abeere omuzadde omulungi oweekisa ave ku ntebe mu mirembe, olwo ataase eggwanga lino akatyabaaga akasinza okuddirira nga abantu balwanira obuyinza. Omulabirizi agamba, nti newankubadde ssemateeka yakyusibwa era nga akkiriza bulungi mwami museveni okugira nga akulembera Uganda naye kino takikola okuddamu kwesimbawo, wabula aweeyo obuyinza mu mirembe kubanga kino kyeyalwanirira. Bino bakira abyogera bugenda butereevu mu matu goomukulu naye abadde mu kusaba kw’okutema evvuunike lyokuzimba ekkanina ku ssomero lya Kyebambe mu fortpartal eri mu disitulikiti ey’e Kabarole. Pulezidenti naye ayanukudde omulabirizi…era byebino mu bujjuvu.