Nankabirwa Atandise Okubunyisa Enjiri Y'akalulu

0
895

Nampala wa gavumenti mu paalimenti Ruth Nankabirwa atandise okutambuza engiri y’okukyusa mu ssemateeka nga bayita mu kalulu keekikungo, okukyusa emyaka gy’ekisanja kya pulezidenti okuva ku myaka e taano okudda ku musanvu. Engiri eno egitandikidde Rukiga ku mikolo gy’abakyala egya disitulikiti eno, era naakutira abalonzi obutebuuza nnyo bwebaba tebalaba babaka baabwe mu bitundu byabwe kuba bali kugya Gwanga.