Aba UPC Beenyumiriza Mu Minisita Amongi

0
464

Ekibiina kya UPC kitegezezza nga bwekigenda okutuula kitunule mu nsonga za minisita w’ebyettaka Betty Amongi. Amongi olunaku lweggulo yalabiseeko mu Kakiiko akanonyereza ku byettaka omulundi ogwasokeddde ddala oluvanyuma lwokuyitibwa emirundi ejiwera. Ekibiina kya UPC kigamba nti kisanyufu bya nsusso olwa Minisita Amongi okugenda mu kakiiko kano.