Ababaka Bawakanyizza Omusolo Omuggya, Baagala ‘Mobile Money’ Bamuleke Nga Bw’ali

0
348

Ababaka ba palaamenti abeegattira mu mukago ogwa Parliamentary forum on public finance management batandise okukungaanya emikono okuwaliriza minisita w’ebyensimbi okuggyayo ebbago ly’eteeka ery’okuggya omusolo ku nkozesa ya mobile money eriri mu kakiiko. Mu lukungaana lw’abannamawulire lwebatuuzizza ku paalamenti enkya yaleero, ababaka bagambye nti omusolo guno singa guba guyisiddwa gwakuleetera abantu bangi okuva mu mulimu gwa mobile money n’okukaluubiriza abantu okuweereza ensimbi kubanga mu bitundu bingi teri bbanka.