Kitatta Awaabye mu Kkooti Enkulu

0
673

Eyali Omukulembeze wa Boda boda 2010 Abdalla Kitatta kati akuumibwa mu nkambi y’amagye era awerennemba n’emisango egiwera mu kkooti y’amagye asazeewo okutwala gavumenti mu mbuga nga wakanya okuwozesebwa mu kkooti y’amagye Kitatta ono nga mu kkooti tabaddeeyo era ng’akikiiriddwa puliida we Jimmy Mayanja , enduulu yaabwe bagitutte mu kkooti enkulu mu kampala nga omulamuzi Yasin Nnyanzi yaali mu mitambo gy’omusango guno