Ababaka ba NRM Abaagana Okugikwatako Tebafunye Sente za LC

0
598

Ababaka aba 27 abaagana okukwata ku Ssemateka w’egwanga kukujjawo ekkomo kumyaka gya pulezidenti beerayiridde nga bwebatagenda kufukaamirira bakulembeze ba kibiina kya NRM wadde nga beyongedde okubasosola mumirimo gyekibina. Ababaka okwogera biino kidiridde ekibina okuwaako ababaka boka abawagira ebaago lya Raphael Magyezi boka ensimbi okugenda okukunga abalonzi babwe okwetaba mukalulu kebyaalo, ate bo a 27 nebagana okubawa ensimbi.