Omubaka Kyagulanyi (Bobi Wine) Atebuse Poliisi

0
363

Olwa leero poliisi ekedde kufuuza woteeri ya Planet esangibwa mu Kabuga k’e Naluwerere omubaka w’e Kyaddondo East Robert Kyagulanyi gyabadde ateeberezebwa okuba nga yasuze mu kiro ekikeesezza olwa leero. Poliisi etegeezezza nti ekibinja ekyasuze ne Bobi wine ku woteeri eno kyabadde ne peetulooli gwebaabadde bagenda okukozesa okwokya bilukululana ebyasuze mu Kabuga k’e Naluwere era abantu 14 bebaakwatiddwa. Kyokka abawagizi ba Basaalirwa omu ku bavuganya ku bubaka bw’ekibuga Bugiri bategeezezza nti ebigambo bya poliisi bigendereddwamu kusiiga bawagizi ba Basaalirwa kko bwebatyo nebagenda mu maaso n’ebivvulu by’okusaba abalonzi akalulu.