Night Asara Eyakubwa Awanda Muliro

0
937

Enjega eyagwa mu Arua mu kufundikira okuwenja obululu bw’okulonda omubaka wa munisipaali ye Arua yaakulwa ku mitima gy’abantu bangi. Asara Night ng’ono mukiise wa division ya Arua Hill ku lukiiko lwa district y’e Arua, ebyaliwo ku lunaku luno abinyuma nga lutabaalo anti yafuniramu obuvune olw’emiggo egyamukubwa kumpi kumukomya ku mugo ngwa ntaana.