VILLA Bagikubye 3: 2, Tennawangulayo

0
4835

Mu Startimes Uganda premier league, KCCA FC ekubye SC Villa goolo 3-2 e namboole akawungezi kalero mu mupiira ogulagidwa obutereevu ku Sanyuka TV. Albert Mugisa yasoose okuteeberea Villa, Julius Poloto naayungira KCCA FC ate Manco Kaweesa neyeteba okuza KCCA FC mumaaso. Oluvanyuma Bashir Mutanda ateebye goolo ey’ekyenkanyi Ate Jackson Nunda naava kuntebe okuwa KCCA FC obuwanguzi era Villa esigale nga tenawangula mupiira mu mizannyo musanvu gyebaakazanya nga balina obubonero busattu.