Mao Aggaliddwa lwa ‘Togikwatako’

0
799

Wabaddewo ensintaano wakati mu kibuga Kampala nga poliisi ekwata president wa Democratic Party Norbert Mao bwabadde agezaako okugenda ku paalamenti okuwuliriza olutuula lwa leero. Police eze erabula lunye okukwaata abantu beetebbereza okutabangula eddembe bukya bakulembeze b’ebibiina ebiwakanya Gavt bakunga bawagizi baabwe kweyiwa ku paalamenti olwaleero.