Omuzadde Akwatiddwa Lwa Kugaana Omwana Okukola Ebigezo Bya P.7
Ruth Nansamba eyali omutuuze w’e Ttaka Jjunge kyokka nga kati yali yasenga Mukono, Poliisi yamugombyemu dda obwaala ngemulanga kuggya mwana mu ssomero natasobola kutuula bigezo bya 7 ebitandise olwaleero.
Ono wabula mu kwewozaako, ategeezezza nga bweyasalawo okusindika muwala we mu bwa yaaya olw’ebbula ly’ensimbi ezisomesa abaana be ate nga ye maama, ye Taata.