Mususse Okusabiriza Museveni – Nakyobe

0
1064

Akulira emirimo mu maaka gobwa presidenti Ruth Nakyobe kyadakyi aludde nalangira banna uganda abasabiriza presidenti ensimbi nga agamba nti omuze guno guyitiridde ela guswaaza eggwanga.
Nakyobe wamu nabakungu abalala nga balabiseko mu kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga zobwa presidenti bategezeza ababaka nti ennaku zino abalebeeta presidenti bayitiridde nga kumpi buli wabera era buli amutukirira aba amusaba sente.