Ababaka Batabuse Lwa Ttaka e Kyankwanzi

0
803

Paalimenti akawungezi kaleero ewuninkiridde nga ababaka ba palamenti abava e kyankwanzi Kamusiime Pentagon ne Anne Maria Nankabirwa bawanyisaganya ebisongovu mu lutuula lwa leero. Entabwe evudde ku mubaka Kamusiime Pentagon okuleeta abantu abagobaganyizibwa ku ttaka mu district y’e Kyankwanzi ku palaamementi n’okutegeza palamenti nga abantu abasoba mu 6000 bwebagobaganyizibwa ekinyiizizza omubaka Nankabirwa.