Paalimenti Eyise Bukubirire Nabbi Kakande

0
1119

Paalimenti ezzeemu neragira omusumba w’ekkanisa ya Synagogue Church of Nations Nabbi Samuel Kakande okulabikako mu kakiiko ka paalimenti akakola ku byobugagga eby’omu ttaka aka Natural Resources Committee ku nsonga y’okuyiikuula ebyobugagga eby’omu ttaka.
Ababaka abatula ku kakiiko kano era balumiriza ekitongole kya NEMA okulemererwa okukola ogwakyo nga abagagga bayiikula mungeri emenya amateeka ng’okwo kwotadde n’okwongera okwonoona butonde bwa nsi.