Abavubi Balangidde Poliisi

0
682

Abavubi e Masaka balangidde poliisi okuba kirumira mpuyi bbiri bwekituuka ku nsonga y’okulwanyisa envuba emenya amateeka. Bano bagamba nti enfunda eziwera baze bakwata bavubi banaabwe bebasanga nga bavuba mu nvuba embi naye mangu dala nga bakabakwata bafunirawo amasimu agava mu offisi ezenjawulo eza police nga zibalagila okuta mangu amaato n’obutimba bwebaba bakutute, kyoka kati bebefuula nti balwanyisa omuze guno.