Abanyoro Baseetudde Ensalo ya Buganda e Buweekula

0
605

Minister omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu bwakabaka bwa Buganda Owek. Joseph Kawuki ayitiddwa bukubirire abakulira essaza Buweekula nga bibasobede olw’ensalo ezaseseetuddwa Bunyoro, ekitundu ekiwerako ne bakitwala.
Kiddiridde abantu abatannategeerekeka okugenda ku mugga Nkunse ogwawula District ye Mubende ne Kakumiro ne baseetula ekipande ekibadde kirambika ensalo zino nebakyongera mu maaso ne batwaliramu ebyalo bibiri.