Abasomerera Obusawo Beegugunze

0
962

Abayizi abasoma obusawo mu matendekero ga gavumenti bavudde mu mbeera ne beekalakaasa, nga bawakanya enteekateeka ya gavumenti okubasalako sente z’ebawa okweyambisa.
Wabaddewo vvaawo mpitewo ku kizimbe kya paalimenti leero, abayizi bano bwe balwanaganye n’abakuumaddembe nga baagala okwesogga paalimenti basseeyo okwemulugunya kwabwe.
Abayizi balayidde obutava ku paalimenti okutuusa ng’ensonga yabwe ekoleddwaako.