Abalemesa Emmotoka Z'ababaka Kkooti Ebagobye

0
713

Agafubutuse mu kkooti gagamba nti kkooti ya ssemateeka egobye omusango ogwatwalibwayo munnayuganda omu ng’awakanya gavumenti okuguliranga ababaka ba paaalimenti emmotoka kapyaata.
Munnayuganda ono Saanywa Twaha yawaaba ng’agamba nti kwali kudibuuda sente y’omuwi w’omusolo okugulira ababaka bano mmotoka, nga tewali agenda na kubalondoola okukakasa oba mmotoka bazigula, n’ekirala kuba kutitiibya ababaka abo ku bakozi ba gavt abalala.
Wabula omulamuzi Richard Buteera omusango agugobye ng’agamba nti kijja kuba kyangu gavt okununula ensimbi ezo singa wazulwawo obuzibu bwonna.
Omusasi waffe ayogeddeko n’eyawaaba omusango n’abaako byamuggyeko