Abasuubuzi Boogedde Ekibagoba mu Butale

0
652

Ensonga y’okugoba abatembeeyi ku nguudo ne ku mbalaza z’amaduuka mu kibuga Kampala ekyakubaganyizibwako ebirowoozo era nga abatembeeyi bakyawanda omuliro, bagamba tebajja kugenda mu butale gavumenti gyebasindiikiriza okukolera.
Olwaleero omusasi waffe atalaaze obutale obwenjawulo, omuli ak’e Wandegeya, Nakawa n’ewalala okumanya ensonga ezigaana abatembeeyi okukolerayo gamba nga ebisale by’emidaala n’emisolo egibaggyibwako.