Abatembeeyi Gavumenti Egenda Kubawa Ssente

0
1052

Abatembeeyi ku nguudo z’ekibuga Kampala Gavumenti bajifukidde akayinja mu ngato, anti ekanya kubasindikiriza nabo bagamba nti tebalina wakudda.
Kakati Gavumenti egamba nti abatembeeyi bonna abanava ku nguudo, Gavumenti egenda kubawa ku nsimbi okwongeera mubyebakola , era nga anasalawo okulemera ku kkubo teyevumanga Gavumenti kuba ekibuga kirina okuddamu okuterera.