Bulaaya Yeegasse Ne Nannakyewa Okudibya Akalabba

0
598

Amawanga ga Bulaaya geegasse ku balwanirizi b’eddembe ly’obuntu okuvumirira ekibonerezo eky’okutta.
Bannakyewa aba Foundation For Human Rights Initiative olwaleero bakuzizza olunaku olw’okwefumintiriza ku kibonerezo eky’okutta, ne basaba gavumenti edibye ekibonerezo ekyo.
Bagamba nti amawanga mangi gaadibya dda ekibonerezo ekyo, kuba kityoboola eddembe ly’obuntu, naye kyewunyisa nti Uganda esajjakudde ku myaka 54 ekyalemezzaawo akalabba.