Buli Muntu Asobola Okugwa Eddalu – Musawo

0
853

Bannayuganda balina okwekaabira, olw’obulwadde bw’obwongo obwongedde okusensera eggwanga, era abakugu bakizudde nti kumpi buli bantu 4 b’osisinkana omu ku bo ayinza okuba omulwadde w’obwongo.
Ng’ensi yonna ekuza olunaku olw’okwefumintiriza ku batabufu b’emitwe, abasawo abakugu bawadde amagezi nti abantu beetaaga kusomesebwa ku ngeri y’okwewala obulwadde obwo.
Abasawo b’e Butabika bagamba nti ekizibu kino tekiri mu Uganda mwokka, ate buli muntu asobola okutabuka omutwe naye abamu babeerawo nga tebakimanyi nti obwongo bulwadde.