Bazadde Temulekerera Abaana – Bannadiini

0
1150

Eyeesunga okufuga America nnaggaga Donald Trump asazeewo kwambalira eyali president Bill Clinton bba wa Hillary Clinton bwe battunka mu kalulu, amukolokose nnyo ng’alumiriza nti y’asinga obutassa kitibwa mu kitonde ekikazi.
Bino byonna Trump abyogedde mu debate y’abavuganya ku bwa president, ng’agezaako okwewolereza olwa mukyala Clinton okumukolokota nti alengezza abakazi.
Waliwo akatambi akaafulumye ku nkomerero ya wiiki ewedde, kakwatibwa mu 2005 nga Trump yeewaga nti tewali mukazi amulema kumegga, ne bw’aba mufumbo.