Byensi Agumizza Bamusigansimbi

0
1041

Ekitongole ekikulira ba musigansimbi mu ggwanga kigumizza abaagala okusiga sente zabwe mu Uganda nti ebyaguddewo ku Crane bank bireme kubatiisa, era tebijja kukosa byanfuna ya ggwanga.
Abakulira ekitongole ekyo bagamba nti ekyatuuse ku Crane Bank si kipya wabula ky’ekimu ku bizibu ebitera okutomera bizinensi zonna mu nsi yonna.
Bbanka enkulu eya Uganda yasazeewo okweddiza obuyinza obuddukanya bank eyo, oluvannyuma lw’okukizuula nti ensawo yaayo eragaye.