Abagerere Basiibye Beekeja, Beesunga Kabaka

0
403

Bugerere awuuma era bannabugerere w’owulirira bino beejaga nga beesunga okulaba ku mpologoma ya Buganda Ssaabasajja Kabaka.
Omutanda yasiimye okulambula Bugerere okumala ennaku bbiri ng’asitula nkya ku lw’omukaaga, olwo ku Sunday aggalewo empaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda.
Bazzukulu ba Katongole abeddira Ente bujja kubeefuka n’Abalangira mu mupiira gw’abasajja, ate mu bakazi bazzukulu ba Mbaziira abeddira Ennyonyi baakuttunka ne bazzukulu ba Kasujja abeddira Engeye.