Musisi Beyagoya Balaajana e Rakai

0
631

Mu September w’omwaka oguwedde 2016 eggwanga lya Uganda lyayugumizibwa mutenzaggulu eyali owomutawaana ennyo, nga n’okutuuka olwaleero abamu bakyamwasimula bugolo.
Abaasinga okukosebwa baali mu district ye Rakai, anti namayumba agamu gasigala ku ddimwa, Bano omukulembeeze bweyakyalayo yabasubiiza obuyambi, naye webali bagamba nti obuyambi bufuuse ganyana aganywebwa omuwangaazi, wabula ngate bali bubi nnyo.