Abasoma Obusomesa Balabye, Gavumenti Telina Mirimu

0
932

Ministule y’ebyenjigiriza n’emizannyo esobeddwa awaka ne mu kibira olw’okubulwa obuwumbi 17 okuwandiisa abasomesa mu masomero ga gavumenti aga Secondary abawera 4700.
Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni ategeezezza ababaka abatula ku kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza nti wadde ensimbi zino zaateekebwa mu mbalirira y’omwaka 2017/18 ministule yebyensimbi terina wadde nusu zeyabawa okuyingiza abasomesa bano.