Abazadde Tebakyali Ku Ddagala E Mayuge

0
560

Ab’ebyobulamu mu district ye mayuge beekubidde enduulu olw’ebbula lye ddagala eliweweeza mukenenya nga mu kiseera kino abaana abazaalibwa ba maama abalina akawuka batuuse okulwala anti bamama baabwe tebakyalina dagala lyebanywa.
Mubangi mulimu ebujje elyemyezi omwenda nga ono nyina olwakizuula nti alina akawuka akaleeta mukenenya, natandika okumira eddagala era omwaana ono abadde yakeberebwako nga tanakafuna.
Ekyembi nyina takyamira dagala, ekitadde obulamu bwomwaana ono mu kattu.