Omuvubi Omulala Attiddwa

0
866

Abavubi ku Mwalo gwe Kaamaliba mu District y’e Mpigi basattira lwa bannaabwe abongedde okuttibwa abaserikale abalwanyisa envuba embi ku nnyanja Nalubaale. Mu kuziika omugenzi Nsereko ku kyalo Nabyewanga mu ggombolola y’e Nkozi, abatuuze gyebasinzidde ne basaba abaduumira abaserikale abakuuma emyalo okubakomako bakomye okumala gatta bantu abatalina musango.