Seeka Obedi Kamulegeya N'obubaka Bwa Eid

0
942

Seeka Mukulu Obedi Kamulegeya aggugumbudde abaganda okuyisa olugayu mubakulembe,nalangira abasiramu Obukoddo obwobutayagala kuwa Zakat ensonga ebasibidde mubwavu,nabasaba okwejamu onjawukana okusobola okukuuma ekitiibwa kyobusiramu. Obedi ,asinzidde ku masigid Nsimbi ziwoome e Bukoto ,nasaba gavumenti eddemu enonyereze ani atta abasiramu oluvanyuma lwa Kkooti okuwa ensalayayo ,gyagamba nti eleese fitina ate neera.