Omuntu Omu Attiidwa E Rukungiri

0
376

Poliisi ekubaganye n’abawagizi ba Dr. kizza Besigye e Rukungiri, munna FDC ne banne gyebabadde bagende okutongoza enkola yaabwe ey’okwesiba akawero akamyufu nga akabonero okuwakanya eky’okukyusa ssemateeka okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti. Poliisi ekozesezza buli kimu kyerina omubadde ttiyagaasi n’amasasi bakira geekuba mu bbanga, wabula era abawagizi ba besigye bajizinsizza amaanyi, kyokka akanyolagano kano kawedde katutte obulamu. Abawagizi ba Besigye, balabise nga bamalirivu ebitalabwa nga, era bakira poliisi ebakubamu omukka ogubalagala nga bbo bayimba luyimba lwa ggwanga.