Munna DP W'e Mukono Nambooze Akomyewo

0
771

Omubaka mu palamenti ow’e Kibuga Mukono Betty Nambooze Bakireke abangi gwebaakazaako erya madam Teacher akomyeewo okuva mu ddwaliro e buyindi gyeyatwalibwa okujjanjabibwa omugongo. Nambooze yamenyeka omugongo oluvannyuma lw’okukubibwa bweyali afulumye mu paalimenti nga eguddemu ensasagge, ku lunaku luli olwa 27 ogw’omwenda paalimenti bweyafuuka eddwaniro.