Besigye Ayogedde Kuby'okukwata Kitatta ne Boda Boda 2010

0
481

Munna-FDC eyeesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Dr. Kizza Besigye eby’okukwata omukulembeze wa Bodaboda 2010 n’amagye okulumba woofiisi z’ekibiina kyekimu abiyise bya katemba nti kuba aboobuyinza balabye baamaze okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe naddala okufufuggaza abali ku ludda oluvuganya gavt. Mu mbozi ey’akafubo gyetubaddemu ne Besigye atubuulidde nti n’okuwulira ekya Bodaboda 2010 kimujjukiza agavubuka ag’efujjo,agatagoberera mateeka yadde okuwa abantu ekitiibwa