Ekyeya e Nakaseke Kibizadde

0
309

Abatuuze naddala abalunzi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo e Ngoma mu disitulikiti y’e Nakaseke, basattira olw’ekyeya ekikazizza ekitundu nga wetwogelera tebalina muddo yadde amazzi ag’okunywesa ebisolo byabwe. Ekyeya kino kijjidde mu kiseera ng’abayizi bali mu luwummula wabula nga betegekera okudda mu masomero ekyongedde okusattiza abazadde kuba tebamanyi abaleebuukana n’okufuna ekyokulya ate nga ne gyebanaggya fiizi tebamanyiiyo Ekyeya kino tekikomye kukosa byanfuna wabula n’ebyensoma y’abaana. Abebyenjigiriza bagamba nti byolekedde okusereba olw’abazadde balunzi okugaana abaana baabwe okugenda ku masomero nga babagamba okulunda amagana ekiro mu tumbi nga omuddo muwewevu olwo bawummuleko nga bukedde.