Mmengo Eyongedde Okufungiza ku Mayiro

0
551

Okuva akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku vulugu eyeetobese mu nsonga z’ettaka lya Uganda akakulirwa amulamuzi Catherine Bamugemereire kasemba nti ettaka lya mailo liveewo, ekiteeso kino bangi naddala wano mu Buganda bakivumirira. Ekitongole kya Beene eky’ebyettaka ki Buganda Land Board nakyo kigamba nti kikyamu nnyo omuntu yenna okulowooza atyo naddala abantu si bebasazaawo batyo. Kisaana kimanyibwe nti ettaka lya mailo okusinga liri mu Buganda.