Minisita Namuganza Akubye Banne Ekimooni, Talabiseeko ku Kakiiko

0
989

Ababaka ba palamenti abava e busoga abeggatira mu kabondo aka Busoga Parliamentary Caucus bagobye munanabwe omubaka wa Bukono era Minisita omubezi avunanyizibwa ku byettaka mu kabondo kaabwe nga bamuvunaana kuyisa lugaayu mu Sipika Rebecca Kadaga ne Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Gabula IV. Baano era balagidde abalonzi babwe naabo obutaddamu kukiriza Minisita Namuganza kugenda mu constitunsi zabwe okujjako esaaza lye lyoka ye lyakikirira elye Bukono.