Obusuubuzi Mubwegendereze – Minisita Kyambadde

0
489

Abasubuuzi n’abatandisi ba biziziness entonotono balabuddwa okwewara okugwira buli kyebasanze nga basiga ensimbi ekibaviriddeko okufirizibwa ebitagambika abamu nebatuuka n’okwevuma eggwanga lyabwe. Minisita webyobusuubuzi n’amakolero Ameria Kyambadde era tabadde nabigambo biwoomu eri abasubuuzi abamu, ategezezza nti abasubuuzi abasinga bagwiirana nebatandika business ezenjawulo zebatalinako pulani era nga tebamazze kuzinonyelezako enzirukanya yazzo. Ono era anenyazze abaami okuzza bakyala babwe emabega nga babalemesa okukola business ezenjawulo.