36 Baakwatiddwa Mu Ggandaalo

0
705

Police mu bendobendo lya Savanah etegeezezza nti yakutte abantu abasoba mu 30 abateeberezebwa okwenyigira mu bumeenyi bw’amateeka obukudde ejjembe mu bitundu bino. Poliisi egamba nti bano okuli n’abaana abatannaweza myaka 18, yabayooledde mu bikwekweto eby’enjawulo ebyakoleddwa mu Passika mu matumbi budde okuva ku ssaawa musanvu ez’ekiro wabula nga tebalina biboogerako ate nga ssi batuuze b’e Luweero.