Kkooti Egaanye Okuyimbula Kawooya

0
410

Omulamuzi wa Kooti ejulirwamu Christopher Madrama agobye okusaba okwo kweyimirirwa okwatekebwayo Seeka Siraje Kawooya, oluvanyuma lw’okusingisibwa egy’obutujju n’okutta abakulembeze b’obusiraamu okuli Seeka Hassan Kirya, Seeka Mastapher Bahiga wamu n’okugezaako okutta Seeka Haruna Jemba. Kawooya yeekubira enduulu mu kkooti ejulirwamu, oluvanyuma lw’okuweebwa ekibonerezo kya kwebaka mu kkomera obulamu bwe bwonna. Kawooya ono, yasibibwa ne Seeka Yunus Kamoga, Mudde Bukenya nabalala.