Amazima Ameeru ku Bacuba

0
712

Ababaka abatuula ku kakiiko ka paalamenti akavunaanyizibwa ku byenjigiriza bavudde mu mbeera oluvannyuma lw’okukitegeera nti Ssettendekero w’e Kyambogo yakoze endagaano ne gavumenti y’eggwanga lya Cuba okuleeta kuno Abacuba abasomesa okubayambako okusomesa ba-yinginiya ttendekero lino. Wabula ye omuyambi w’amyuka cansala w’e Kyambogo, avunaanyizibwa ku byensimbi Polof. Fabian Nabugwomu agambye nti ekibaleesa abasomesa okuva e Cuba kwekuba nti Uganda terina bakugu basobola kusomesa ba yinginiya mu ggwanga .