Eno Buganda, so ssi Masekkati

0
403

Ekitongole ky’emiwendo ekya Uganda Bureau of Statistics kyetondedde Obwakaba bwa Buganda olw’okufulumya maapu eraga ebitundu bya Uganda byonna mu mannya gaabyo ag’ennono okuggyako Buganda. UBOS ebadde ekwasa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga maapu ya Uganda eyazzeemu okukubwa ng’ebirambika Buganda n’ensalo zaayo.