Abatuuze B'eKiryadongo Baagala Bufunvu mu Kkubo

0
473

Tiyaggaasi na masasi binyose mu district ye Kiryandongo nga polisi yezooba nabatuuze abakedde okwesala akajegere nga bateeka obugulumu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu nga bagamba nti bakooye obubenje entakera obumazeewo abantu babwe. Mukavuvugano kano akasanyalazizza entambula ye biduka kwosa ne mirimu mukitundu okumala essawa eziweredde dala , ssentebe wa district ye Kiryandongo nabantu abalal bakwatiddwa nebatwalibwa awatamanyiddwa ku kabangali zaayo.