Tuyambe Okomye Okukozesa Kaveera

0
831

Obuveera buzze buvumirirwa olw’obulabe obubulimu eri obulamu bw’abantu n’obutonde kyokka tekiremedde bannayuganda kusigala nga babwettanira. Kati obuveera bulina ebitundu 30% ku kasasiro akungaanyizibwa buli lunaku era abantu batono abafaayo okutangira obulabe bwebutuusa ku ggwanga. Wandyebuuzizza ensonga lwaki obuveera tebuggwa mu bantu wadde nga bamanyi obulabe obuli mu kubukozesa? Katulabe ebisingawo ku nsonga eno.