Alipoota ku Byali mu Arua Efulumye

0
332

Palamenti ewadde gavumenti nsalessale wa mwezi gumu gwokka okunoonyereza ku bajaasi abaatulugunya omubaka Bobi Wine ne banne mu Kibuga Arua era oluvanyuma banjulire palamenti alipoota. Bino biddiridde alipoota y’akakiiko akasibwawo sipiika wa palamenti Rebecca Alitwala kadaga okunoonyereza ku nkwata y’ababaka n’etegeeza ti embeera eyali mu Arua yali teyeetagisa magye gakuuma presidenti.