Amayumba Bagalindiggudde ku Ddimwa

0
715

Abatuuze abasoba mu 60 bagobaganyizibwa ku ttaka abamu amayumba gaabwe negakonebwa nga kati basula bweru. Abatuuze mu kiseera kino bali ku makubo n’ebintu byabwe oluvannyuma lw’okugobebwa mu mayumba gaabwe. Abagobeddwa bagamba nti tebaafuna kulabulwa yadde so ng’abamu ku bbo balumiriza nti balina n’obukakafu obulaga nti webabadde waabwe.