Empaka Z'okubaka eza University Z'ensi Yonna

0
415

Nga ebula ennaku 12 okutuuka kumpaka z’okubaka eza University ezensi yonna eza World University Netball Championship, eddwaliro lya IAA e Nakasero likoze endagaano ne Makerere University nga bakuyambako n’ebyobulamu bya bazannyi abagenda okwetaba mumpaka zino . Mubino mulimu Ambulance enayamba mukutambuza abazannyi abafunye obuzibu, abasawo n’eddagala nga wonna awamu bibalibwamu obukadde 30 nga bino bikakasiddwa kukitebe ky’e ddwaliro lino e Nakasero. Omukolo gw’obakwasa ebimu kubikozesebwa omubadde na Ambulance gwetabiddwako Dr Sarah Ssali nga yakikiridde omumyuka wa kyansala wa Makerere Barnabas Nawangwe , abakungu ba IAA ne Peninah Kabenge akulira akakiiko akategesi