Abasomesa mu Arua Basuddewo Ennoni Nebagenda

0
341

Abasomesa mu kitundu kya Westnile okusingira ddala mu nkambi z’ababundabunda basuddewo emirimu egy’okubangula abayizi ne babakana n’ogwokuvuga bodaboda naddala mu town y’e Arua. Kino kyeraliikirizza abakulira ebyenjigiriza mu Westnile nga bagamba nti kino ky’ekiyinza okuba nga ky’ekiviirako okusereba kw’ebyenjigiriza mu masomero ag’enjawulo.